Numbers 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku buli kaliga olw'ekitambiro ekyokye oba ekitambiro ekirala otegekerangako evviini eweza ekyokuna ekya yini ng'ekitone eky'okuyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku buli mwana gwa ndiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini ey’envinnyo nga kye kiweebwayo ekyokunywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mwana gw'endiga ogunaawebwangayo ng'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka endala yonna, oyo awaayo anaaleterangako envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu ekyokuna ekya ini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaawangayo ne lita y'omwenge gw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Ebyo bye munaategekanga bigendere wamu na buli kiweebwayo ekyokebwa, oba ekitambiro eky'endiga ento.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'envinnyo okuba ekiweebwayo ekyokunywa, ekitundu eky'okuna ekya ini, onootegekanga wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka, olwa buli mwana gw'endiga.