Numbers 15:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ndiga ennume otegekerangako obuwunga obukuŋŋunte obulungi obuweza ebyekkumi bibiri ebya efa ng'ekitone eky'obuwunga, ng'obuwunga butabikiddwamu omuzigo oguweza kyakusatu ekya yini,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu obwa Ini ez’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’obutundu mwenda n’obutundu bubiri obwa Ini,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwanaawangayo endiga ennume, anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oba nga endiga ennume ye eweebwayo, munaategekanga kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, nga butabuddwamu lita emu n'ekitundu ey'omuzigo ogw'emizayiti, ebyo ne biba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba olw'endiga ennume onootegekanga okuba ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta: