Numbers 16:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kora muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Yizuwari, mutabani wa Kewati, ng'ali ne bazzukulu ba Rubeni: Datani ne Abiramu, batabani ba Eliyabu, ne Oni mutabani wa Peleti, beekulumbaza
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Koola, mutabani wa Izukali, Izukali mutabani wa Kokasi, asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, ne Oni mutabani wa Peresi, ab'omu kika kya Lewubeeni,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Koora mutabani wa Yizuhaari, Yizuhaari mutabani wa Kohati asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Datani ne Abiraamu batabani ba Eliyaabu, ne Oni mutabani wa Peleti, ab'omu Kika kya Rewubeeni,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Koola, mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu, ne Oni, mutabani wa Peresi, batabani ba Lewubeeni, ne batwala abantu: