Numbers 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe yakwesembereza ne baganda bo bonna bazzukulu ba Leevi, ate kati oyagala n'obwakabona kubwezza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era mukaayanira n'obwakabona?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era munoonya n'obwakabona?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okusembeza ggwe ne bagandabo bonna batabani ba Leevi wamu naawe? era munoonya n'obwakabona?