Numbers 16:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe n'abagoberezi bo Omukama gwe mujeemedde. Aroni ye ani okumwemulugunyaamu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki ggwe ne banno mujeemera Mukama; ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu butuufu, ggwe ne banno bonna, Mukama gwe mujeemedde, kubanga Arooni ye ani, mmwe mulyoke mumwemulugunyize?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyemuvudde mukuŋŋaanira ku Mukama ggwe ne banno bonna: ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?