Numbers 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe tekikumalira okulaba nga watuggya mu nsi eyali ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, otuttire mu ddungu; ate kati oyagala kudda ku ffe ofuge?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okiyita kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, n'otuleeta okututtira mu ddungu, era n'otwefuulirako omulangira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tekimala okuba nti watuggya mu nsi engimu era engagga, n'otuleeta okututtira mu ddungu? Era oyagala n'okwefuula atufuga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyali kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki n'otulinnyisa, okututtira mu ddungu, era naye n'okugwanira ne kikugwanira okwefuula omulangira ku ffe?