Numbers 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu, tewatuyingiza mu nsi mukulukuta migga gya mata na mubisi gwa njuki, wadde okutuwa eby'obusika byaffe: ebibanja n'ennimiro z'emizabbibu. Kati oyagala kulimbalimba bantu bano? Tetujja kujja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekirala totuleese mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu; kati oyagala kutubuzaabuza? Tetujja kujja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekirala, totutuusizza mu nsi engimu era engagga, wadde okutuwa ebibanja n'ennimiro ez'emizabbibu okuba ezaffe! Kati abantu bano oyagala okubaziba amaaso? Tetujja kujja!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate totuleese mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu: oyagala okuggyamu amaaso abantu abo? tetujja kwambuka.