Numbers 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Omukama nti: “Ebitone byabwe tobitunuulira; tewali gwe nali nzigyeko wadde akalogoyi ke, tewabangawo gwe nali nkoze bubi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'asunguwala nnyo n'agamba Mukama, nti, “Tokkiriza kiweebwayo kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkoze obubi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti: “Tokkiriza kitone kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkozeeko kabi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti Tossaayo mwoyo eri ekyabwe ekiweebwayo: sibaggyangako na ndogoyi emu, so sikolanga bubi n'omu ku bo.