Numbers 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu n'akwata ekyoterezo kye, n'assaamu omuliro n'obubaani, ne bayimirira ne Musa ne Aroni ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo buli omu n'akwata ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira wamu ne Musa ne Arooni ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni.