Numbers 16:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kora bwe yamala okukuŋŋaanya ekibiina kye kyonna ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okubawakanya, ekitiibwa ky'Omukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Koola n'akuŋŋaanyiza ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu nga boolekedde Musa ne Alooni; ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Koora n'akuŋŋaanya ekibiina ky'abantu kyonna, ne kiyimirira nga kitunuulidde Musa ne Arooni ku mulyango gw'Eweema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Koola n'akuŋŋaanyiza ku bo ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.