Numbers 16:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne basitukira mu Musa wamu n'Abayisirayeli bibiri mu ataano, abaali abakulembeze mu kibiina, abakiise mu lukiiko era abantu ab'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abaisiraeri abalala bibiri mu ataano (250), abakulembeze abaatiikirivu abaalondebwa mu kibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abayisirayeli abalala ebikumi bibiri mu ataano, abantu abatutumufu era abakulembeze abaalondebwa mu kibiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bagolokoka mu maaso ga Musa, wamu n'abalala ab'oku baana ba Isiraeri, abakulu b'ekibiina bibiri mu ataano, abaayitibwa mu kkuŋŋaaniro, abasajja abaayatiikirira: