Numbers 16:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bagwa nga beevuunise ku maaso gaabwe, ne beegayirira nti: “Ayi Katonda, Katonda awa obulamu buli muntu, onoonyiigira ekibiina kyonna sso ng'akoze ekibi ali omu bw'ati?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa ne Alooni ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Musa ne Arooni ne bagamba nti: “Ayi Katonda, Ggwe osibukamu obulamu bwonna. Omuntu omu ng'akoze ekibi onoosunguwalira abantu bonna?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bavuunama amaaso gaabwe ne bagamba nti Ai Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna?