Numbers 16:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba ekibiina nti: “Mwesege weema z'abasajja bano ababi; temukwata ku byabwe, sikulwa nga musaanyizibwawo wamu nabo olw'ebibi byabwe byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba ekibiina nti, “Mbeegayiridde, muve awali weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyabwe kyonna, muleme okuzikirizibwa olw'ebibi byabwe byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba abantu nti: “Mbeegayiridde muve okumpi ne weema z'abantu abo ababi, sikulwa nga muzikirizibwa olw'ebibi byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba ekibiina nti Mbeegayiridde, muve ku weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyonna ku byabwe, muleme okuzikirizibwa mu bibi byabwe byonna.