Numbers 16:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bava awaali ekisulo kya Kora, Datani ne Abiramu baali bafulumye nga bayimiridde ku miryango gya weema zaabwe wamu ne bakazi baabwe ne batabani baabwe n'amabujje gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bava awali ennyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. Naye Dasani ne Abiraamu, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato ne bafuluma ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ne beesega, ne babeera wala n'eweema ya Koora, n'eya Datani, n'eya Abiraamu ku njuyi zonna. Datani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe, nga bali wamu ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagolokoka okuva ku nnyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu, enjuyi zonna: Dasani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n'abaana baabwe abato.