Numbers 16:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Kuno kwe munaategeerera nti Omukama ye yantuma nkole byonna bye mulaba, si ntegeka zange ku bwange:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Ku kino, kwe munaategeerera nga Mukama ye yantuma okukola emirimu gino gyonna, era nga sigikola nga nzigya mu kutetenkanya kwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba nti Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola.