Numbers 16:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abasajja bano bwe banaafa enfa eya bulijjo, ne babonerezebwa nga bwe kitera okugwa ku bantu abalala, olwo ng'Omukama si ye yantuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo nga tebatuukiddwako kibonerezo kya njawulo; kale Mukama nga teyantuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano bwe balifa ng'abantu abalala bonna bwe bafa, oba bwe balituukibwako ekitalema kutuuka ku bantu bonna, kale nga Mukama si ye yantuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo, oba bwe balijjirwa ng'abantu bonna bwe bajjirwa; kale Mukama nga teyantuma.