Numbers 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna wamu ne balumba Musa ne Aroni nga bagamba nti: “Mweyitiriza! Kubanga n'ekibiina kyonna kitukuvu, ne mu bo Omukama mw'ali. Lwaki mwefuula abakulu ku kibiina ky'Omukama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balumba Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Muyitirizza okwekuza, kubanga buli muntu mu kibiina mutukuvu, kale lwaki mwegulumiza okusinga ekibiina kya Mukama kyonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne Arooni, ne babagamba nti: “Muyitirizza okwekuza. Abantu b'Eggwanga lino bonna ba Mukama, era Mukama ali wamu nabo. Kale, lwaki mwegulumiza ku bantu b'Eggwanga lya Mukama?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni ne babagamba nti Muyinga okwekuza, kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?