Numbers 16:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama bw'anaakolawo ekintu ekiggya, ettaka ne lyasama ne libamira n'ebyabwe byonna, ne bakka emagombe nga balamu, munaategeera nti abantu bano baanyoomye Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama bw'anaakola ekitalabwangako, ettaka ne lyasama ne libamira wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka mu bunnya nga balamu, olwo munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.