Numbers 16:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe lyayasama, ne libamira wamu n'ebyabwe byonna, n'abagoberezi ba Kora na byonna bye baali balina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne libamira bo, wamu ne Koola n'abantu be bonna, n'ennyumba zaabwe, n'ebintu byabwe byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne libamira awamu n'eby'omu maka gaabwe, n'abagoberezi ba Koora bonna wamu n'ebyabwe byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira, n'ennyumba zaabwe, n’abantu bonna aba Koola, n'ebintu byabwe byonna