Numbers 16:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakkirira emagombe nga balamu, ettaka ne libabikka, ne bazikirira, ne babulawo mu kibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakka bonna n'ebyabwe nga balamu mu bunnya, ettaka ne libasanikira ne basaanawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne beesolessa mu bunnya nga balamu, ettaka ne libasaanikira, ne basaanawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne bakka nga balamu mu bunnya: ensi n'ebasaanikira, ne bazikirira mu kibiina.