Numbers 16:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira emiranga gyabwe, Abayisirayeli abaali bayimiridde awo ne baddukawo nga baleekaana nti: “Ka oti, naffe ettaka ligenda kutumira!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri bonna abaali babeetooloodde ne badduka olw'okukaaba kwabwe, nga nabo batya ettaka okubamira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna abaali beetoolodde abantu abo, bwe baawulira ebiwoobe byabwe, ne badduka nga baleekaana nti: “Lekooti, sikulwa nga naffe ettaka litumira!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri yonna abaali babeetoolodde ne badduka olw'okulira kwabwe: kubanga baagamba nti Ensi ereme okutumira ffe.