Numbers 16:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuliro ne guva ew'Omukama ne gusenkenya abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali baweereza obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano (250) abaawaayo obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asindika omuliro, ne gwokya abantu ebikumi ebibiri mu ataano, abaali booteza obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano abaawaayo obubaane.