Numbers 16:38 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyoterezo bya bajeemu abo abaafa biweesebwemu embaati zibikkenga ku kyoto, kubanga baabiwaayo mu maaso ga Mukama, era bitukuvu, binaabanga akabonero eri abaana ba Isiraeri bonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyoterezo by'aboonoonyi abo abattiddwa olw'ebibi byabwe, bitukuvu, kubanga baabiwaddeyo eri Mukama. Ebyoterezo ebyo, biweesebwemu embaati, zibikkenga ku alutaari, zibeerenga akabonero akalabula Abayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebyoterezo bya baao abaayonoona ku bulamu bwabwe bo, babifuule essowaani eziweesebwa okubikka ku kyoto: kubanga babiwaddeyo mu maaso ga Mukama, kye bibeeredde ebitukuvu: era binaabanga kabonero eri abaana ba Isiraeri.