Numbers 16:39 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo, eby'abantu abayokebwa bye baawaayo, ne babiweesamu embaati ez'okubikkanga ku kyoto,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo ebyaweebwayo abo abookeddwa, ne biweesebwamu ekibikka ku alutaari,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ebikomo, abo abookeddwa bye bawaddeyo; ne babiweesa okuba ekibikka ku kyoto: