Numbers 16:40 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okujjukizanga Abaisiraeri nti buli muntu atali wa lulyo lwa Alooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koola n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eriyazaali ng'ayita mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okujjukizanga Abayisirayeli nti buli muntu atali wa lulyo lwa Arooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koora n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eleyazaari, ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuba ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri, munnaggwanga yenna, atali wa zzadde lya Alooni, alemenga okusembera okunyookeza obubaane mu maaso ga Mukama; alemenga okuba nga Koola, era nga banne: Mukama nga bwe yamugamba n'omukono gwa Musa.