Numbers 16:41 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku lunaku olwaddirira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti, “Mwasse abantu ba Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddako, ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kyemulugunyiza Musa ne Arooni, nga kigamba nti: “Mwasse abantu ba Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku lw'enkya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti Mwasse abantu ba Mukama.