Numbers 16:42 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira Eweema ey'okusisinkanirangamu; era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bonna bwe baali nga bakuŋŋaanidde ku Musa ne Arooni, ne bakyuka ne batunula awali Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne balaba ng'ekire kigibisse. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira eweema ey'okusisinkanirangamu: era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.