Numbers 16:46 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire; kubanga obusungu bufulumye eri Mukama, kawumpuli atanudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kwata ekyoterezo kyo, oggye amanda g'omuliro ku alutaari ogateeke mu kyo, oteekeko obubaane, okitwale mangu mu bantu, obasabire ekisonyiwo, kubanga Mukama asunguwadde, kawumpuli atandise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni nti Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire: kubanga obusungu bufulumye eri Mukama: kawumpuli atanudde.