Numbers 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Kora n'abagoberezi be bonna nti: “Enkya Omukama anaamanyisa oyo gw'ayita owuwe, oyo omutukuvu; gw'anaaba alonze anaamusembeza w'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Koola nti, “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba Koora ne banne bonna nti: “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba Koola ne banne bonna nti Enkya Mukama anaalaga ababe bwe bali, n'omutukuvu bw'ali, era anaamusembeza gy'ali: oyo gw'anaalonda anaamusembeza gy'ali.