Numbers 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
enkya muddire ebyoterezo mubisseemu omuliro n'obubaani mu maaso g'Omukama; yenna gw'anaaba alonze, oyo y'anaaba omutukuvu. Naye, bazzukulu ba Leevi, ekyo kimala!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mutwale ebyoterezo, mubisseeko omuliro n'obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Mukama omuntu gw'analonda ye anaaba omutukuvu; nammwe batabani ba Leevi, muyitirizza okwekuza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
enkya, ne mubiteekamu omuliro, ne muteekako obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Olwo oyo Mukama gw'analonda, nga ye wuwe. Muyitirizza okwekuza mmwe Abaleevi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
muteeke omwo omuliro, mubiteekeko obubaane mu maaso ga Mukama enkya: kale olunaatuuka omuntu Mukama gw'anaalonda ye anaaba omutukuvu: muyinga okwekuza, mmwe batabani ba Leevi.