Numbers 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe tekibamalira Katonda wa Yisirayeli mmwe okubaawula mu kibiina kyonna ekya Yisirayeli, n'abayunga ku ye muweereze mu Kisulo ky'Omukama, muyimirire mu maaso g'abantu bonna nga muweereza mu kifo kyabwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukiyita kitono, Katonda wa Isiraeri okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abaisiraeri okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukiyita kitono, Katonda wa Yisirayeli okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abayisirayeli okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'obuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyali kitono gye muli Katonda wa Isiraeri okubaawula mu kibiina kya Isiraeri, okubasembeza gy'ali; okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okubaweereza: