Numbers 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muviire ekibiina kino, kubanga ŋŋenda kubazikiriza kaakati.” Ne bagwa wansi ku maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omuggo gwa Alooni guzzeeyo awali Essanduuko ey’Endagaano gukuumirwenga awo ng’akabonero ak’okulabulanga abajeemu. Ekyo kinaasirisa okunneemulugunyiza, balyoke bawone okufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Zzaayo omuggo gwa Alooni mu maaso g'essanduuko ey'endagaano, gukuumibwenga, gube akabonero akalabula abajeemu, nti bajja kufa, bwe batakomya kunneemulugunyiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Zzaayo omuggo gwa Arooni mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, gukuumibwenga, gube akabonero akalabula abajeemu, nti bajja kufa, bwe batakomya kunneemulugunyiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Zzaayo omuggo gwa Alooni mu manso g'obujulirwa, okukuumibwanga okuba akabonero eri abaana b'obujeemu; omalewo okwemulugunya kwabwe ku nze, baleme okufa.