Numbers 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni naye bwe yakola; n'ayanguwako, n'agenda mu kibiina wakati, ekibonerezo kyali kitandise, n'aweereza obubaani, n'addaabiriza ku lw'abantu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaana ba Isirayiri ne bagamba Musa nti, “Laba, ffenna tujja kufa! Tujja kuggwaawo, tujja kuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti, “Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bagamba Musa nti: “Tuutuno, tufudde, tuzikiridde, ffenna tuweddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde.