Numbers 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lagira Eleyazari mutabani wa Aroni kabona aggye ebyoterezo ebiri mu muyonga, amanda agasaasaanyize walako, kubanga ebyoterezo bitukuvu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri baleete emiggo kkumi n’ebiri nga gireetebwa abakulembeze baabwe mu buli kika, omuggo gumu buli kika. Owandiike erinnya lya buli musajja ku muggo gwe gw’aleese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri, bakuwe emiggo kkumi n'ebiri (12), gumu okuva ku buli mukulu w'ekika, owandiike erinnya lya buli mukulu w'ekika ku muggo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba Abayisirayeli bakuwe emiggo kkumi n'ebiri, gumu gumu okuva ku buli mukulu wa kika, owandiike erinnya lya buli mukulu wa kika ku muggo gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri, obaggyeko emiggo, buli nnyumba ya bakitaabwe gumu, ku bakulu baabwe bonna ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, emiggo kkumi n'ebiri: wandiika erinnya lya buli muntu ku muggo gwe.