Numbers 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bye byoterezo eby'abasajja abaayonoona ne batunda obulamu bwabwe. Bikubeekube obikolemu embaati zibikkenga ku mwaliiro, kubanga baabiweerezza Mukama era bitukuvu. Bijja kusigala ng'akabonero Abayisirayeli kwe banaalabiranga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wandiika erinnya lya Alooni ku muggo oguvudde mu kika kya Leevi. Kubanga buli mukulembeze w’ekika ky’obujjajja ajja kubeera n’omuggo ggumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era owandiike erinnya lya Alooni ku muggo gw'ab'ekika kya Leevi, kubanga buli mukulu wa Kika anaaba n'omuggo gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era owandiike erinnya lya Arooni ku muggo gw'ab'Ekika kya Leevi, kubanga buli mukulu wa kika anaaba n'omuggo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoowandiika erinnya lya Alooni ku muggo gwa Leevi: kubanga buli mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe omuggo gunaaba gumu.