Numbers 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eleyazari kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo, omuliro be gwasiriiza bye baali baweerezza, ne babikubaakubamu embaati ez'okubikka ku mwaliiro,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olyoke ogiteeke mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, we mbasisinkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoogiteeka mu Weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'essanduuko ey'endagaano we nsisinkanira nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onootwala emiggo egyo mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, n'ogiteeka mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, we nsisinkanira nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoogitereka mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'obujulirwa, we nsisinkanira nammwe.