Numbers 17:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa. Abayisirayeli zinaabajjukizanga nti omuntu owa bulijjo atali muzzukulu wa Aroni takkirizibwa kuweereza Mukama bubaani, sikulwa nga naye abeera nga Kora n'abagoberezi be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno omuggo gw’oyo gwe nnaalonda gujja kutojjera; bwe ntyo nzija kusirisa okukwemulugunyiza kuno okutatadde okw’abaana ba Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka, ekyo kye kinaamalawo okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri okw'olutata.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu gwe nnaalonda, omuggo gwe gunaaloka, ndyoke mmalewo okwemulugunya kw'Abayisirayeli okujja gye ndi, nga babeemulugunyiza mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka: nange naamalawo gye ndi okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri, kwe babeemulugunyiza.