Numbers 17:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kyemulugunyiza Musa ne Aroni nga bagamba nti: “Mmwe mwasse abantu b'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri; abakulembeze baabwe ne bamuleetera emiggo, buli mukulembeze omuggo gumu gumu, ng’ebika by’obujjajjaabwe bwe byali, okugatta gyonna gy’emiggo kkumi n’ebiri, nga n’omuggo gwa Alooni mwe guli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba abaana ba Isiraeri; era abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo. Buli mukulu wa kika omuggo gumu, ng'ebika byabwe bwe biri, gy'emiggo kkumi n'ebiri (12); n'omuggo gwa Alooni gwali wamu nagyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayogera n'Abayisirayeli. Abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, gumu gumu buli kika, emiggo gyonna kkumi n'ebiri. Omuggo gwa Arooni nagwo ne gubeera mu gyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, buli mukulu gumu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, gy'emiggo kkumi n'ebiri: n'omuggo gwa Alooni gwali mu miggo gyabwe.