Numbers 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina bwe kyali kikuŋŋaana okujeemera Musa ne Aroni, ne bakyukira eri Weema ey'Ensisinkano; ekire ne kigibikka, ekitiibwa ky'Omukama ne kirabika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ateeka emiggo egyo mu maaso ga Mukama Katonda mu Weema ya Mukama awali Essanduuko ey’Endagaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ateeka emiggo mu Weema, mu maaso g'essanduuko ey'endagaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ateeka emiggo egyo mu Weema, mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'atereka emiggo mu maaso ga Mukama mu weema ey'obujulirwa.