Numbers 17:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni ne bajja mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe bwakya enkya Musa n’ayingira mu Weema ya Mukama awali Essanduuko ey’Endagaano, era laba, ng’omuggo gwa Alooni ow’omu kika kya Leevi nga gutojjedde nga guliko n’obutabi obuto, nga gutaddeko n’ebibala ebyengedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwaddirira, Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'alaba ng'omuggo gwa Alooni ogw'ab'omu kika kya Leevi, gulose ne guleeta omutunsi, ne gusansula, ne gubala ebibala nga byengevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddako, Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'alaba ng'omuggo gwa Arooni ogw'ab'omu Kika kya Leevi, gulose ne guleeta omutunsi, ne gusansula, ne gubala ebibala ebyengevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya Musa n'ayingira mu weema ey'obujulirwa; era, laba, omuggo gwa Alooni ogw'omu nnyumba ya Leevi nga gumeze ne guloka ne gusansula ne gubala amaloozi amengevu.