Numbers 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’afulumya emiggo gyonna ng’agiggya mu maaso ga Mukama Katonda, n’agireeta awali abaana ba Isirayiri; ne bagitunuulira, buli omu n’aggyawo omuggo gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'aggyayo emiggo gyonna, n'agifulumya n'agitwalira abaana ba Isiraeri bonna ne bagikebera, buli mukulu wa kika n'atwala ogugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'aggyayo emiggo gyonna, n'agifulumya n'agitwalira Abayisirayeli bonna, ne bagikebera, buli omu n'atwala ogugwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'afulumya emiggo gyonna eri abaana ba Isiraeri bonna ng'agiggya mu maaso ga Mukama: ne balaba, ne baddira buli muntu omuggo gwe.