Numbers 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yagamba Aroni nti: “Ggwe ne batabani bo, n'ennyumba ya kitaawo, mmwe muneetikkanga omusango gw'ebyonoono by'omu Kifo Ekitukuvu; naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga omusango gw'ebyonoono by'omu mirimu gy'obwakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Alooni nti, “Ggwe ne batabani bo n'ab'omu kika kyammwe, munaavunaanwanga ebinaabanga bisobye mu kifo ekitukuvu. Naye ebinaasobanga mu bwa kabona, binaavunaanwanga ggwe ne batabani bo mwekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Arooni nti: “Ggwe ne batabani bo, n'ab'omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga ebinaabanga bisobye mu Kifo Ekitukuvu. Naye ebinaabanga bisobye mu bwakabona bwammwe, binaavunaanyizibwanga ggwe ne batabani bo mwekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Alooni nti Ggwe ne batabani bo n'ennyumba ya bakitammwe wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'awatukuvu: era ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'obwakabona bwammwe.