Numbers 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okiryanga ng'ekintu ekitukuvu; buli musajja ayinza okukiryako; okitwalanga nga kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoobiriranga mu kifo ekitukuvu, buli musajja yenna akkirizibwa okubiryangako. Binaabanga bitukuvu gye muli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaabiryanga mu ngeri egwanira okulya ebitukuvu ennyo. Buli musajja akkirizibwa okubiryangako. Mutegeerenga nga bitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onoolyangako ng'ebintu ebitukuvu ennyo; buli musajja anaalyangako: binaabanga bitukuvu gy'oli.