Numbers 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bino nabyo binaabanga bibyo: buli kinassibwanga ebbali ku birabo by'ebitone eby'okuwuuba eby'Abayisirayeli. Mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, ng'omugabo gwammwe ogw'olubeerera. Buli mulongoofu mu nnyumba yo ayinza okulyangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era na bino bibyo: ebiweebwayo ebisitulibwa byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, okuba omugabo gwammwe ennaku zonna; na buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaabiryangako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne byonna ebimpongerwa Abayisirayeli, ne biba byange mu ngeri ey'enjawulo, nabyo bibyo. Mbikuwadde ggwe, ne batabani bo, ne bawala bo, mubifunenga ennaku zonna. Buli mulongoofu ali mu maka go, akkirizibwa okubiryangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bino bibyo: ekirabo kyabwe kye bawaayo ekisitulibwa, byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa: mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo anaalyangako.