Numbers 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzigo gw'oliva ogusingira ddala obulungi n'evviini n'eŋŋano byonna ebisingira ddala obulungi, bye baleetera Omukama ng'ebibala ebisooka mbikuwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera Mukama eby’amakungula gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era nkuwadde amafuta gonna agasinga obulungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, n'ebibereberye ku ebyo bye banaawanga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Byonna ebisinga obulungi, ebisooka okukungulwa, ku muzigo ogw'emizayiti, ku mwenge ogw'emizabbibu, ne ku ŋŋaano, bye bantonera Nze Mukama, mbikuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amafuta gonna agasinga obulungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, ebibereberye ku byo bye banaawanga Mukama, ggwe mbiwadde.