Numbers 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibala byonna eby'ettaka ebisooka bye baleetera Omukama, bibyo. Buli mulongoofu mu nnyumba yo ayinza okulyangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; na buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaabiryangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibala byonna ebisooka okwengera mu nsi yaabwe, bye banandeeteranga Nze Mukama, binaabanga bibyo. Buli mulongoofu ali mu maka go, akkirizibwa okubiryako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaalyangako.