Numbers 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buli kiggulanda kyonna eky'olubuto mu bantu oba mu nsolo, kye basingira Omukama, kiba kikyo; kyokka omuggulanda omulenzi na buli kiggulanda ekisajja eky'ensolo eteri nnongoofu obinunulanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli ekiggulanda ekiweebwayo eri Mukama, oba nga muntu oba nsolo binaabanga bibyo. Naye on'okkirizanga ensimbi ez'okununula omwana omugulanda, era on'okkirizanga ensimbi ez'okununulanga ensolo eteri nnongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli ekiggulanda, k'abe muntu oba k'ebe nsolo, ekintonerwa Nze Mukama, kinaabanga kikyo. Naye omwana omuggulanda, onokkirizanga ensimbi ze bamununuza. Era n'ensolo eteri nnongoofu, onokkirizanga ensimbi ze baginunuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ekinaggulanga enda, ku byonna ebirina omubiri bye bawaayo eri Mukama, oba nga muntu oba nga nsolo, binaabanga bibyo: naye omubereberye w'omuntu tolemanga kununula, n'embereberye z'ensolo ezitali nnongoofu onoonunulanga.