Numbers 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'okinunula nga kiwezezza omwezi gumu, onoowanga ssente z'omuwendo gwe wagibalirira ogwa sekeli eza ffeeza ttaano, ng'ogerera ku sekeli y'omu Kitukuvu ezitowa gera abiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana banaanunulibwanga nga ba mwezi gumu, ku muwendo omugereke ogwa sekeri ttaano eza ffeeza, ez'ekipimo ekitongole eky'omu kifo ekitukuvu, ze gera abiri (20) buli sekeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana banaanunulibwanga nga ba mwezi gumu, ku muwendo omugereke ogwa sekeli ttaano eza ffeeza, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu, ze ggeera amakumi abiri buli sekeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebyo ebinaabanga eby'okununulibwa ku byo ebyakamaze omwezi ogumu onoonunulanga, ng'okubala kwo bwe kunaabanga, n'omuwendo ogwa sekeri ttaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri eyo ze gera abiri.