Numbers 18:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekiggulanda bwe kiba kya nte ennume, endiga oba embuzi, ebyo tebiinunulibwenga, kubanga bitukuvu. Omusaayi gwabyo ogumansiranga ku mwaliiro n'amasavu n'ogookya, ng'ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tozinunulanga ezo, ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ente, n'endiga, n'embuzi, ezisooka okuzaalibwa, teziinunulwenga. Ezo zange. Zinattibwanga, omusaayi gwazo n'ogumansira ku alutaari, amasavu gaazo n'ogookya, ne gaba ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa, Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tonunulanga; ezo ntukuvu: onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, okuba evvumbe eddungi eri Mukama.