Numbers 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kitundu ekissibwa ebbali ku bitone ebitukuvu Abayisirayeli bye baweereza Omukama, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo; kyammwe ng'omugabo gwammwe ogw'olubeerera, ndagaano ya munnyo mu maaso g'Omukama, ku ggwe n'ezzadde lyo emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya Mukama wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byonna ebiweebwayo ebisitulibwa ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna; ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebitone byonna eby'enjawulo Abayisirayeli bye bantonera, mbikuwadde ggwe, ne batabani bo, ne bawala bo, mubifunenga ennaku zonna. Eno ye ndagaano ey'olubeerera gye nkoze naawe era n'ezzadde lyo, eterimenyebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Byonna ebisitulibwa ebiweebwayo ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nkubiwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo awamu naawe.